top of page

Okubala abantu okw'ekikungo mu ggwanga lya Amerika okw'omwaka 2020

Ebitonotono ebikwata ku kubala abantu okw’ekikungo mu ggwanga lya Amerika

Okubala abantu kuno kwatandika mu mwaka gwa 1790 era ne kuddibwangamu buli luvannyuma lw’emyaka kkumi, na guno gujwa.  Okw’omulundi guno kwe kw’abiri mu ennya era nga kwategekebwa okubeerawo nga 1 Kafuumulampawu (April), 2020. Bw’oba tewakikola, okyalina okutuusa omwezi gwa Ntenvu (December). Ojja kusabibwa okuddamu ebibuuzo ebikukwatako kko n’abantu abaali babeera mu nju yo nga 1 Kafuumulampawu, 2020. Ebibuuzo bino si bizibu nnyo okuddamu era ebiddibwamu byo bya kukuumibwa nga bya kyama.

Oyinza otya okwetaba mu kubala abantu okw’ekikungo okw’omwaka 2020?

Waliwo engeri ssatu: oyinza okujjuza ffoomu eyakuweerezebwa okuva mu kitongole ekibala abantu mu mwezi gw’okuna; oyinza okukuba essimu (1-844-330-2020); oba okuyita ku mutimbagano gwa yintaneeti (www.my2020census.gov). Bw’osalawo okuyita ku mutimbagano gwa yintaneeti, genda ku mukutu ogwo waggulu ogoberere ebyo ebikusabibwa. Ojja kusabibwa okuteekamu Census ID eyakuweerezebwa mu bbaluwa (Census ID zibeera ennamba kkumi na bbiri ezikwawula ku balala mu kubala abantu okw’omulundi guno). Bw’oba togirina, koona ku “if you do not have a Census ID, click here” ogoberere ebikusabibwa. Bw’oba omalirizza okuddamu ebibuuzo byonna era n’owaayo ebiddibwamu byo, kyokka n’okizuula nti wandyagadde okutereezaamu katono mu ebyo by’owandiise, okyasobola okuddamu buto n’otereeza by’oyagadde; abakungu mu kitongole ekibala abantu basobola okukwasaganya ebyo byonna by’oba obaweerezza.

Bibuuzo ki by’osabibwa okuddamu?

Ojja kusabibwa okuwa omuwendo gw’abantu abaali babeera mu nju yo ku lunaku lw’okubala abantu nga 1 Kafuumulampawu 2020. Mu kino abategese okubala abantu kuno bagendereramu okulaba nti buli muntu abalibwa omulundi gumu, mu kifo w’ali, k’abe mwana muwere, k’abe nga ssi mwana wo oba nga tomulinaako luganda kasita aba nti yali abeera mu nju yo ku lunaku olwo. Osabibwa okuwandiika amannya gaabwe, nga okulembeza ery’oyo asasula ebisale by’enju.

Ojja kusabibwa okuddamu oba enju mw’obeera n’abantu bo abo waggulu yiyo, okyagisasula oba ogipamgisa. Kino kiyamba okusiiga ekifaananyi eby’enfuna by’eggwanga we biyimiridde kisobozese abo abategekera eggwanga okusalawo obulungi.

Ojja kusabibwa ekikula oba obutonde bwa buli muntu abeera mu nju yo (Gender). Kino kisobozesa gavumenti okutegekera eggwanga, okukwasisa amateeka, mmu na ddala ago agatangira obusosoze.

Emyaka gya buli muntu abeera mu nju yo (Age) nagyo ojja kugiwaayo. Kino kiyambako gavumenti mu kuteekerateekera abantu abagwa mu myaka egy’enjawulo nga muno mw’otwalidde abaana n’abakadde. Ssinga mubaamu omwana otannaweza mwaka gumu, wandiika zero “0” nga gwe mwaka gwe.

Obuva bw’omuntu (Race). Omuntu ono asibuka ku lukalu lwa Africa, Asia, Europe, oba awalala? Kino kiyamba gavumenti okukwasisa amateeka agatangira obusosoze mu langi. Ojja kusabibwa era oyogere oba omuntu oyo alinamu akalandira akaSipaana era lwa nsonga y’emu eyo waggulu.

Ojja kusabibwa oluganda lw’olina ku buli muntu ali munju yo. Ayinza okuba balo, mukyala wo, mukadde wo, mutabani oba muwala wo, ssenga oba kojja wo, kizibwe wo, oba n’okuba nti omuntu oyo tomulinaako luganda gamba nga omukozi wo oba oyo gw’ogabana naye obugabanyi ennyumba. Kino kiyamba gavumenti okuteekereteekera amaka naddala ago agalimu omuzadde omu, wamu n’ago ageetaaga obuyambi obw’enjawulo.

Biki ebigendererwa mu kubala abantu kuno okw’ekikungo?

Ekisooka, ebinaava mu kubala abantu kuno bisalawo kinene ku muwendo gw’abakiise abava mu buli Ssaza (State) abatuula ku Lukiiko lw’eggwanga olukulu (House of Representatives) wamu n’abo abalonda omukulembeze w’eggwanga n’omumyuka we (Electoral College). Jjukira nti bano basalawo kinene mu kukyusa obukulembeze bw’eggwanga.

Eky’okubiri, ebinaavaamu bisalawo kinene mu kusala ensalo z’ebitundu gye tubeera (congressional districts, state legislative districts, school districts). Ensalo zino nazo zisalawo kinene ku mbeera y’obulamu bw’ebitundu gye tubeera.

Era ebinaavaamu bisalawo kinene mu ngeri gavumenti eya wakati (Federal government) gy’egabanyaamu ensimbi eri zi gavumenti ez’ebitundu (State and Local governments) okusobola okuzimba n’okulabirira enguudo kko n’okuddukanya amasomero, amalwaliro, okukuuma obutebenkenvu mu bitundu, wamu n’okutwala mu maaso obuweereza obutali bumu.

Na buno bukulu...

Ojja kusabibwa era oweeyo n’ennamba y’essimu yo abakungu b’ekitongole ekibala abantu kwe banaayita okukutuukirira ssinga banaabaako kye beetaaze obatangaazeemu mu ebyo by’ozzeemu.

Bw’oba wamaliriza dda okubala abantu b’omunju yo, kyokka nga okyafuna ebbaluwa eziva mu kitongole ekibala abantu, totetemuka. Abakungu b’ekitongole kino bakozesa ebbaluwa okujjukiza abo abatannakikola. Kiyinzika okuba nti we baasindikira ebbaluwa eyo, bye wabaweereza byali tebinnabatuukako.

Oyinza okuba awo nga weebuuza oba okubala abantu kuno kunaalinnya eggere mu nfuna yo ey’akasente gavumenti k’ewa abantu okweyimirizaawo mu budde buno obwa nnabe ya ssennyiga kattira, Covid-19 (stimulus check) bw’oba obadde okafuna: Kikafuuwe! Ebikunngaanyizibwa bikuumibwa butiribiri nga bya kyama, n’olwekyo akasente ako ojja kusigala nga okafuna bwe kanaaba kazze.

Okumanya ebisingawo ku kubala abantu kuno okw’ekikungo okw’omwaka 2020, genda ku mutimbagano gwa yintaneti www.2020census.gov.

bottom of page